Kabs Info Link Television Logo

Wednesday, August 12, 2020

ABATUUZE BASANYUFU. BALABYE KU TULAKITA (TRACTOR) MU KITUNDU KYAABWE OMULUNDI OGUSOOKEDDE DDALA. BYA MULUKA GWA KALAGALA EKISANGIBWA MU MALONGO RURAL SUB COUNTY MU DISTURIKITI (DISTRICT) YA LWENGO

Abatuuze ba LC ettaano okuva mu Kalagala Parish, Malongo Rural Sub County, Lwengo District kati bali mu ssanyu eritagambika oluvannyuma lw'okuweebwa tractor ebakolere amakubo gaabwe. Kino kyaddiridde okwekalakaasa okwakolebwa abatuuze bano nga 17/07/2020 era n'ebatiisatiisa obutetaba mu kulonda era n'okwabulira NRM ssinga tebakolera makubo gaabwe. Wewaawo kitegerekese nti n'ewankubadde nga disturikiti yabawadde tractor eno, teyabawadde yadde ttondo lya mafuta, era nga bbo nga abatuuze bebalina n'okusasula abakozi abagiriko. Wetugambira abatuuze balajanira buli abaagaliza okubakwatirako naddala abo abesiibyeewo mu bifo ebyenjawulo naddala mu bitundu byaabwe. Bagamba nti baali balinako ku busente butonotono obwabaweebwa abamu ku besiimbyeewo era nebasalawo babusse ku nsonga eno era nga bwebwasobosezza tractor okuba nga etandika okukola. Bano batandise balina million emu n'ekitundu (Shs. 1.5M) nga buli lunaku bafulumya Shs. 500,000/= okugula Lita 100 eza disel kwossa n'okusasula abakozi ku tractor. Bagamba nti betaaga ssente ezisukka obukadde kkumi (Shs. 10M) okumaliriza ensonga eno. 





Okwongera okugoberera eggulire lino genda ku Facebook Page yaffe eya Kabs Info Link 






No comments:

Post a Comment

Kindly give us your feedback or comment on this post. Your feedback or comment is very important to us! Your comments help us to understand your conception of our posts and the feedback helps us to improve on our own performance.
Thank you