Kabs Info Link Television Logo

Saturday, August 29, 2020

DR. SARAH NKONGE AYANIRIZIDDWA MU KALAGALA... ABASUUBIZZA OKUBAKOLERA NABASABA AKALULU... ALOOPYE HON. CISSY NAMUJJU ERI ABATUUZE

 Dr. Sarah Nkonge avuganya ku bwa Lwengo District Woman Member of Parliament asiibye e Kalagala nga bwasaba akalulu era nabasuubiza okubakolera ebingi bwe bamulonda okubakyiikirira. Aloopedde abatuuze nga Hon. Cissy Namujju gwe bevuganya yeyambisizza police nakwata ebintu bye byabadde aleese okugabira abatuuze, nemmotoka y'ebidongo byabadde alina okwogererako. 




Dr. Nkonge nga ayogerako eri abatuuze





Abatuuze nga bali mu nyiriri bafuna ssente za Dr. Nkonge






Saturday, August 22, 2020

HON. CISSY NAMUJJU ASIIBYE KALAGALA: ABASUUBIZZA OKUBAKOLERA AMAKUBO. REPORT FROM LWENGO DISTRICT, MALONGO RURAL SUB COUNTY ON 22ND AUGUST, 2020 by Tumusiime Johnious

Abatuuze basuubiziddwa amakubo. Hon. Cissy Namujju nga yakiikirira Lwengo District mu Parliament assuubizza okumaliriza okulongoosa amakubo gonna agataasobola kuggwa abatuuze bwe bekolamu omulimu ne basonderera obusente okuva mu bannabyabufuzi abenjawulo era nebasaba district eyabawa tractor bbo bekolere amakubo.


Kinnajjukirwa nti kino kyajja oluvannyuma lw'okwekalakaasa okwenjawulo wabula nga gavumenti teyanukula wadde, ekyaaviirako abatuuze bano okulangirira nga bwebaali nagenda okwabulira ekibiina ekya NRM era ekiri mu buyinza, n'obutetaba mu kulonda okubindabinda.

Okufuna ebisingako laba eggulire lino mu video



Hon. Namujju Cissy (woman in the yellow seat) and Hon. Ibrahim Kitatta on the rally at the Sub County of Malongo Rural in Kalagala Parish.




(Citizens from the five Local Councils (LC1s): Kalagala B LCI, Kasagazi LCI, Kahule LCI, Bwingana LCI, and Lwensambya LC1 all in Kalagala Parish, Malongo Rural Sub County in Lwengo District had a joyous moment with there district woman Member of Parliament, Hon. Namujju Cissy Dionizia who in her speech promised to rehabilitate the roads that made them choose to strike arrange the demonstrations that took place a few days past. (The news video is in Luganda language)

Wednesday, August 12, 2020

ABATUUZE BASANYUFU. BALABYE KU TULAKITA (TRACTOR) MU KITUNDU KYAABWE OMULUNDI OGUSOOKEDDE DDALA. BYA MULUKA GWA KALAGALA EKISANGIBWA MU MALONGO RURAL SUB COUNTY MU DISTURIKITI (DISTRICT) YA LWENGO

Abatuuze ba LC ettaano okuva mu Kalagala Parish, Malongo Rural Sub County, Lwengo District kati bali mu ssanyu eritagambika oluvannyuma lw'okuweebwa tractor ebakolere amakubo gaabwe. Kino kyaddiridde okwekalakaasa okwakolebwa abatuuze bano nga 17/07/2020 era n'ebatiisatiisa obutetaba mu kulonda era n'okwabulira NRM ssinga tebakolera makubo gaabwe. Wewaawo kitegerekese nti n'ewankubadde nga disturikiti yabawadde tractor eno, teyabawadde yadde ttondo lya mafuta, era nga bbo nga abatuuze bebalina n'okusasula abakozi abagiriko. Wetugambira abatuuze balajanira buli abaagaliza okubakwatirako naddala abo abesiibyeewo mu bifo ebyenjawulo naddala mu bitundu byaabwe. Bagamba nti baali balinako ku busente butonotono obwabaweebwa abamu ku besiimbyeewo era nebasalawo babusse ku nsonga eno era nga bwebwasobosezza tractor okuba nga etandika okukola. Bano batandise balina million emu n'ekitundu (Shs. 1.5M) nga buli lunaku bafulumya Shs. 500,000/= okugula Lita 100 eza disel kwossa n'okusasula abakozi ku tractor. Bagamba nti betaaga ssente ezisukka obukadde kkumi (Shs. 10M) okumaliriza ensonga eno. 





Okwongera okugoberera eggulire lino genda ku Facebook Page yaffe eya Kabs Info Link