Links to Best Solutions Uganda Official Sites

Wednesday, March 25, 2020

OLIVIA MUGABE AKUBIRIZZA BANNA BUKOTO WEST OKULWANNYISA N'OKWEWALA EKIRWADDE KI NAMUTTA EKYA COVID -19 EKIRETEBWA AKAWUKA KA CORONA VIRUS.




Muli mutya banna Bukoto   West bannange! Kirungi okwogerako nammwe ku nsonga eriwo Kati, eya Covid -19 (Corona Virus) efuuse ekizibu ekinene mu nsi yonna. Ntuusa okutegeeza kwange eri mmwe mwenna abantu baffe nti mbaagala nnyo nyini ddala. Y'ensonga lwaki nvuddeyo okubasaba nti tukwataganire wamu mu kulwannyisa awamu n'okwewala ekirwadde kino ki namutta. Mujjukire bambi nti ebizibu ebinene bitukosa kinene era ebizibu ebitono bitukosa kitono. Ekizibu ekiriwo kinene nnyo era kiteekwa okutukosa kubanga w'ekiri. Wabula ekisinga obulungi kwe kuba nga waliwo engeri gyetusobola okulwannyisamu ekizibu kino obutasaasaana nnyo mu bitundu byaffe. Mbasaba ffena awamu twekuume nga tuli balamu! Tetuganya akawuka kano kutuuka kuno oba okusaasaana singa kaba katuuse.

Obubaka okuva ewa Ms. Olivia Mugabe (eyewaddeyo okuweereza banna Bukoto   West   nga omubaka mu Palamenti)

Banna Bukoto   West   bannange mbegayiridde tukwatire wamu tulwannyise obulwadde buno tebutuuka wano ewaffe, era nga bwetukolera nate awamu okubwewala singa buba butuuse. Jjukira nga ggwe tojja kumanyirawo nti butuuse oba nti oyo gw'oliraanye abulina oba tabulina. N'olweekyo, kubanga okugema kukira okujjanjaba, mbasaba nti ffenna awamu tukole bino wammanga buli kiseera okwetangira; n'ewankubadde nga tetumanyi bwe tuyimiridde oba bannaffe bwe bayimiridde ku nsonga eno.

1. Tweyongere okwekwasa eri Katonda waffe n'okusaba ennyo newankubadde nga tetulina kugenda mu masinzizo. Katonda ye nannyini buyiinza, ate buli wetumusabira atuwulira
2.  Twewale okugwangana mu bifuba, newankubadde nga tuli bamikwaano nnyo.
3. Twewale okukwatagana mu ngalo oba nga tubuuzagana, si lwa bukyaayi naye olw'okukuuma obulamu bwaffe.
4. Tunaabe nnyo era bulungi engalo zaffe buli kiseera kye tuba tusobodde oba buli bwe tufunye amazzi ne sabbuuni.
5. Twewale okuliraana enyo abantu naddala  abava mu bifo ebiteberezebwa okubaamu obulwadde bunno
6. Tunywe nnyo amazzi n'ebyokunywa eby'enjawulo.
7. Twewale okutambulira mu bifo ebiteberezebwa okuba n'obulwadde buno
8. Twambale obusiba mimwa ne gloves singa tuba tuteekwa okutambulira mu bidduka eby'olukale naddala takisi oba baasi.
9. Tuweeyo mbagirawo oyo yenna ateeberezebwa okubeera n'obulwadde buno oba alabise obubonero bwaabwo eri abasawo bamwekebejje
10. Tetuyisa bubi bannafe singa bateberezebbwa okuba n'obubonero oba singa bakakasibwa okuba abalwadde, wabula tubayambe nga tubayitira abasawo.

OBUBONERO KW'OLABIRA OMUNTU AYIINZA OKUBA N'AKAWUKA KANO BWE BUNO:
1.    Olusujja sujja olwa lubyamira
2.    Sennyiga
3.    Okukolola (ekifuba) okwa buli kiseera
4.    Okussa obubi
5.    Okubuguumirira naddala ekifuba oba omugongo
6.    Obunafunafu obutali bwa bulijjo
7.    N'obubonero obulaala nga ekitongole ky'ebyobulamu bwe kirangirira buli kiseera.
Wabula jjukira nti buno obubonero bwennyini bwandiranga obulwadde obulala. N'olwekyo si buli abufunye nti abeera n'obulwadde buno. Tuukirira omusawo (owekizungu) omutendeke mbagirawo nga werabyeeko obubonero buno, era wewale okubusiiga banno.

OKUMANYA EBISINGAKO KU BULWADDE BUNO OBA OKUTEGEEZA NGA WALIWO AYIINZA OKUBA N'OBULWADDE BUNNO, KUBIRA EKITONGOLE KY'EBYOBULAMU KU NNAMBA ZINO EZITALI ZAKUSASULIRA: 0800100066 / 0800203033 OBA BAWEEREZE OBUBAKA KU WHATSAPP: 0706428093


JJUKIRA OKWEEKUMA NGA OLI MULAMU, OKWEKEBERA MU LUKALALA LW'ABALONDA ERA N'OKULONDA OMUTUUFU WA BUKOTO WEST, OLIVIA MUGABE, KU BWA MMEMBA MU PALAMENTI OWA BUKOTO WEST CONSTITUENCY 2021.

FOR GOD AND MY COUNTRY

No comments:

Post a Comment

Kindly give us your feedback or comment on this post. Your feedback or comment is very important to us! Your comments help us to understand your conception of our posts and the feedback helps us to improve on our own performance.
Thank you